Abakujjumbidde okusimba ebibira bakufunyeemu
Okusimba ebibira omuva emiti egyokutunda kulabise nga kutandikidde ddala okwettanirwa bannayuganda olw’amagoba amangi agakulimu. Kyokka kino kitandise ate okuleetawo okwekengera mu bakulembeze nga batya nti enjala ani amuwadde akatebe yandirumba eggwanga singa abantu bava mu kulima emmere y’okulya ne balima emiti. Tuwayizaamu n’abalimi be Kassanda abafunye mu kusimba ebibira.