Buddu n'e Kyaggwe basuze beewera lwa mpaka z'amasaza
Abawagizi b’omupiira gw’amasaza basuze bulindaala, nga beesunga okweyiwa mu kisaawe e Namboole olunnaku olw’enkya ku Fayinolo z’omwaka guno ez’amasaza, Kyaggwe bwebunaaba ubeefuka ne Ssaza ly’ebuddu. Abazanyi n’abatendesi baabwe beewera ku bulu luuyi nga buli omu akakasa nga bwajja okugenda n’obuwanguz. Tutuuse ku kisaawe e Namboole ne tusanga nga tiimu z’amasaza zeegezaamu mu kisaawe abazzanyi bamanyiire ekisaawe kino.