E Bukomansimbi, omuwala asangidwa mu kinaabiro nga attiddwa
Poliisi e Bukomansimbi etandise omuyiggo gw’abatemu abatannaba kutegeerekeka abakakkanye ku muwala ow’emyaka 16 ne bamutta. Omuwala ono yasangiddwa mu kinaabiro nga anaaba omutemu gyeyamusanze n’amufumita ebiso mu mugongo ebyamujje mu bulamu bwe nsi.