E Mbarara, ba kansala batabuse olw'ensimbi ezaatekebwa ku nguudo okuba mpitirivu
Obutakkaanya bwabaluseewo mu kanso ya disitulikiti y’e Mbarara abamu ku bakansala bwebatabuse nga beemulugunya ku nsimbi ezaatekebwa ku nguudo ezimu gyebagamba nti mpitirivu. Bano kati baagala kunyonyolwa lwaki emiwendo gyino okupaalusibwa, awatali kulinda kunyonyolwa beekandazze nebafuluma ekisenge ekiteesezebwamu nga bagamba tebasobola kutunula nga ensimbi y’omuwi w’omusolo ediibudibwa mu ngeri etategeerekeka. Bakansala abamu abasigaddemu bavumiridde ekikolwa kya bannaabwe.