Ebitongole ebirwanirira eddembe ly’emmere biwanjagidde gavumenti okuyisa etteeka ku mmere n’ebyendya
Ebitongole ebirwanirira eddembe ly’emmere biwanjagidde gavumenti okwekenneenya etteeka ku mmere n’ebyendya, liyisibwe mu bwangu. Bano babadde mu nsisinkano okusala entotto ku kutumbula omutindo gw’emmere n’okulafuubana okulaba nga buli muntu afuna emmere. Bawanjagidde gavumenti okudduukirira abalimi abasookerwako ne tekinologiya ow’omulembe basobole okufuna mu byebalima.