Ebyenjigiriza mu gombolola y'e Jaguzi; Ebizinga musanvu birina essomero lya siniya limu yokka
Nate n’olunaku olwaleero abasasi baffe bakyali ku kizinga Jaguzi ekisangibwa mu gombolola ye Jaguzi. Newankubadde kyekikira obunene mu bizinga omusanvu ebiri mu gombolola eno, kiriko essomero lya siniya limu lyokka li Jaguzi Islands Community Seconday School. Tutuseeko ku ssomero lino ne tusanga abaana nga munguuba, kyoka nga livujjirirwa kitundu.