Essomero lirina okutunyonnyola: Abazadde b'omwana agambibwa okwetuga bawakanya enfa ya
Ab’oluganda lw'omuyizi eyasangibwa nga yeetuze e Kyanja mu gombolola y’e Nakawa basambaze ebyogerwa nti omwana wabwe yeetuga bwetuzi.
Hawa Nantongo ow’emyaka 19 nga abadde muyizi ku somero li Wampewo Senior Secondary School yasangiddwa nga alengejjera ku muguwa olwomukaaga oluwedde.
Okusinziira ku Poliisi omwana baamukaka okusoma emasomo ye gatayagala ab’oluganda kyebawakanya.