Eyali akulira KCCA Dorothy Kisaka ne banne basindikiddwa ku alimanda e Luzira
Eyali akulira KCCA Dorothy Kisakka, omumyuka we Eng. David Luyimbazi Ssali, ne Dr. Daniel Okello eyali ow’eby’obulamu basindikiddwa ku alimanda e Luzira. Omulamuzi wa kkooti eno e Kasangati Beatrice Khainza yaakabatemye oluvanyuma lw’okusomerwa emisango 57 okubadde n’ogw’okutta abantu mu butali bugenderevu kiyite man slaughter abasukka mu makumi 30 abafiira mu kasasiro e Kiteezi.