Kaliisoliiso wa gav’t ayimirizza kampuni eyali yaweebwa Kasasiro w’e Kiteezi
Kaliisoliiso wa gav’t Beti ayimirizza kampuni ya Jaspong eyali yaweebwa Kasasiro w’e Kiteezi okumukolamu ebintu ebirala eby’omugaso. Ono agamba bingi ebitankanibwa ku ngeri musigansimbi ono gyeyafunamu kontulakiti eno. Yye Minisita omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye eyatwala musiga nsimbi ono e Kiteezi obuzibu abutadde ku loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago okukuma omuliro mu nsonga zino - Ye Lukwago akuba gudiigudde.