Kyagulanyi Ssentamu alazze obwenyamivu olw’abantu beyali ateetera nabo okuva ku mulamwa
Akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu alazze obwenyamivu olw’abantu beyali ateetera nabo ate okumwefuulira nebava ku mulamwa gw’ekibiina nebaluvubanira ensimbi, kuno agaseeko ekibba ttaka n’awa abantu amagezi buli omu afube kumanya ttaka lye weriri kuba mudda ligenda kubaddizibwa. Okwogera bino ono abadde mu munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buyikwe gyali mu kunoonyeza ekibiina kye obuwagizi. Olugendo lwe okutuuka ku kisaawe ky’e Butema awabadde olukungaana obwedda ab’eby’okerinda bakola kimu kubalaga kkubo webalina kuyita.