NEMA ekoze ekikwekweto ku mabaala n’amakanisa agasula nga gawogganyiza abantu ebidongo
Ekitongole ki NEMA kikutte ow’eby’okwerinda we Kito mu munisipaali y’e Kira olw’okulwanagana n’ab’ekitongole kino ababadde ku kikwekweto ku mabaala n’amakanisa agasula nga gawogganyiza abantu ebidongo e Kiro. Akwatiddwa ye Salim Wasswa nga abadde awakanya okutwala emizindaalo gy’e bbaala ya Eye Eight. NEMA esanze akaseera akazibu mu mabaala agasinga obungi.