Nsambya Babies Home ejaguzza emyaka 55 bukya etandikibwawo
Vicar General w’essaza ekkulu ly’e Kampala, Msgr. Charles Kasibante, mwenyamivu olw’ettemu eryeyongera enkya n’eggulo mu ggwanga, asabye buli ssekinoomu okusabira eggwanga, okulaba nga omuze guno gukomezebwa. Kasibante era yekokkodde abantu okugobaganyizibwa ku ttaka n’asaba abakikola okwekuba mu mutima. Bino abyogeredde mukujaguza kw’amaka agalabirira abaana abataliiko mwasirizi ga Nsambya babies home nga gajaguza emyaka 55.