NUP etadde ebitongole b’eby’okwerinda ku ninga olw’abantu baabwe abeyongedde okubuzibwawo
Ekibiina ki National Unity Platform, kitadde ebitongole b’eby’okwerinda ku ninga olw’abantu baabwe abeyongedde okubuzibwawo mu ngeri bya etamanyikiddwako mayitire. Kino kiddiridde okuwambibwa kw’abamu ku ba memba b’akakiike k’eby’okulonda ak’ekibiina kino olunaku lw’eggulo abeegasse ku Fred Nyanzi ssaabakunzi eyawambibwa ku balaza ya sabiiti eno.