Obukyafu obufumbekedde mu lufula ez’enjawulo bwennyamizza ababaka ba palamenti
Akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’obulamu kalaze obwennyamivu olw’obukyafu obufumbekedde mu lufula ez’enjawulo mu Kampala, nti kyandikosa omutindo gw’ennyama afuluizibwa mu bifo bino. Obuzibu babutadde ku butale obwenjawulo obulala obuli mu lufula, bwebagamba nti busaanye buteekebwe mu bifo ebirala. Bano balambudde lufula ez’enjawulo okulaba embeera y’obuyonjo bweyimiridde.