Okulondoola ssente y'omuwi w'omusolo: Ssenyonyi ne banne balambudde kampuni ekola eddagala
Kampuni ekola eddagala eya Dei Bio Pharma, nga eno yaliko okusika omuguwa mu palamenti ku ky’okugiwa ssente ekakasizza nga bwegenda okutandika okutandika okufulumya eddagala omwezi ogujja. Kampuni eno gyebuvuddeko, ababaka naddala ku ludda oluvuganya gavumenti, baawakanya ekya gavumenti okujjongera sente esobola okutuukiriza ekigendererwa kyayo. Kinajjukirwa nga akulira Kampuni eno Dr. Mathias Magoola mubiseera bya COVID 19, bweyategeeza pulezidenti Museveni nga bweyali azudde eddagala eriwonya ekirwadde kya Covid, nga mukwogerako naye olwaleero atubuulidde ekyamulemesa.