Okulwanyisa endwadde z'amaaso: Ab'e Mengo bafunye eby'omulembe
Palamenti esuubizza okwongera sente mu minisitule y’eby’obulamu okugisobozesa okulwanyisa endwadde ez’enjawulo ezeeyongera buli olukya naddala ez’amaaso.
Kino kiddiridde omuwendo gw’abalwadde b’amasomero okweyongera kumpi buli kadde.
Ekisuubizo kino kikoleddwa amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa bw’abadde ku mukolo gw’okuggulawo ekizimbe omw’okujjanjabirwa amaaso ku ddwaliro ky’e Mengo.