Omukazi atuze omwana ow’ennaku 3 n'amusuula mu kaabuyonjo e Kanyanya
Abatuuze ku kyalo kikuubo mu muluka gw’e Kanyanya mu gombolola y’e Kawempe bawuniikiridde, mutuuze munnaabwe bwasudde omwana ow’ennaku 3 mu kaabuyonjo oluvanyuma lw’okumutuga. Madina Nakalyango okukola kino kigambibwa yasoose kukuba ssimu ya bba nga teriiko. Mukiseera kino poliisi emukutte.