Poliisi erinnye eggere mu lukiiko olwategekeddwa Lukwago e Kawaala
Olukiiko olubadde luyitiddwa loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago luyiise, poliisi bw’erulinnyeemu eggere, nga lubadde lulina kuba Kawaala mu divison y’e Lubaga ku nsonga y’okusengulwa NEMA nti beesenza mu lutobazi mu bukyamu. Bano babadde baakatandi poliisi netuuka era n’eragira abantu buli omu okudda ku bibye, wano wabaddewo okuwanyisiganya ebisongovu wakati wa bannabyabufuzi ababadde bakulembeddwamu Erias Lukwago ne poliisi. Abatuuze bavumiridde ekya poliisi okubalemesa okwogera ku nsonga zaabwe.