Ruth Nankabirwa ategezeza nga bwatagenda kwesimbawo mu kalulu
Minister w’amasanyalaze n’obugagga obw’ensibo era nga yaliko omubaka omukyala owa Kiboga Ruth Nankabirwa Ssentamu avuddeyo n’ategeeza nga bwatagenda kwesimbawo mu kalulu kabonna akajja mu 2026. Ono wabula ategezezza nga bwajja okukenyigiramu obuterevu okukakasa ng’owekibiina kki NRM yawangula. Ono bino abyogeredde Kiboga ku mukolo gwokujaguza olunaku lwabazira olwakwatiddwa olunaku lw'eggulo mu district.