Taata w'omuvubuka eyayokebwa atabuse
Wabaddewo katemba mu Kkooti ento e Mubende taata w’omuvubuka gwebaayokya nga bamulanga okubba embizzi bweyesozze akaguli mu bukambwe nga awakanya okusaba kw’abasibe okweyimirirwa. Taata w’omwana atuuse n’okukolimira abasibe wakati mumaaso g'omulamuzi nti singa tebawa mwana we bujjanjabi wakubakola ekikyamu.