Waliwo ssemaka asaliddwako obulago e Masaka
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Butebere -Kibaati mu gombolola y’e Buwunga mu district ye Masaka bwe basanze mutuuze munaabwe ng’asalidwa obulago.
Kigambibwa nti abaakoze obutemu buno basoose kumukubira ssimu mu budde obw’ekiro nga beefudde abaliko bye bamugamba, bweyabasisinkanye ne bamutta
Poliisi etubulidde nti ekutte abantu basatu bagiyambeko mu munonyereza kwayo.