Abatuuze b’e Kigumba beekubidde enduulu, enjovu zibaliira ebirime
Abatuuze mu ggombolola ye Kigumba mu disitulikiti ye Kiryandongo beekubidde enduulu olw’enjovu eziva mu kkuumiro lya Murchison ezibafuukidde ekizibu .Banoo beeraliikirivu nti bandigwamu enjala kubanga emmere yaabwe esinga gye baasimba sizoni ewedde yayonooneddwa enjovu zino .