Abatuuze ne NEMA:Kkooti etandise okuwulira omusango abatuuze gwe baawaaba
Okuwulira omusango abatuuze be Busaabala, Bugu ne Kibiri mwe bawakanyiza okusengulwa ab'ekitongole kya NEMA kutandise mu kkooti enkulu olwaleero .
Abatuuze balumiriza nti tebali mu lutobazi era nga baagala kkooti eyimirize eky'okubasengula
Omulamuzi wa kkooti alagidde enjuyi z'ombi okuwaayo buli kyetaagisa mu musango guno bazeetegereze olwo basalewo eggoye nga 27 omwezi gw'ekkumi n'ebiri