‘AKOLA OBULUNGI ASIIMWA’: Williams Kato awummudde egy’okusunsula amawulire
Abakozi b'ekitongole ki Nation Media Group, ekitwaala NTV Uganda, Spark TV, daily monitor, KFM, ne Dembe Fm awamu n'abo abaaliko abakozi baakyo kwossa abakozi okuva mu bitongole bya gavumenti eby'enjawulo, baayiise mu bungi olunaku lw'eggulo wano ku serena Hotel nga basiibula mukozi munaabwe Williams Kato.Embeera yabadde yakiyongobero na ssanyu era bangi bayoozezza ku mmunye wakati mu kumwebaza olw'emirimu gy'akoledde eggwanga. Kato y'abadde akulira okusunsula amawulire mu kitongole ki Nation Media Group, era wannyukidde nga ekitongole abadde yakakikolera emyaka 17 be ddu.