Faridah Nambi ssi mumativu n’ebyali mu kalulu k’e Kawempe
Munna NRM eyeesimbawo ku ky’okujjuza ekifo kya Kawempe North Faridah Nambi naye yeebuuza ani eyaleeta ab’ebyokwerinda abatabulatabula eby’okulonda b’alowooza nti baatiisatiisa abalonzi abawerako ne batasobola kulonda. Agamba eti ku nkuyanja y’abasirikale n’ebyokulwanyisa nga emmamba ebyayiibwa mu kitundu kyali kizibu abalonzi okuvaayo okulonda.