‘Mugunjule abaana’ Kaziimba Mugalu akalaatidde abazadde
Ssabalabirizi wa Uganda Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye ab’ebyokwerinda okukakkanya ku bukambwe bwe bakozesa nga bakwata abantu naddala abateerezebwa okuba abazzi b’emisango.Kazimba agamba nti enkola ng’eno ettatana ekifananyi ky’ebitongole ebikuuma ddembe, songa era ekuubagana n’entekateeka ey’eddembe ly’obuntu.Bino abyogeredde mu makaage Namirembe bwabadde awa obubaka bwa mazalibwa ag’omwaka guno 2024.