Okukungubagira Ssegirinya: Kyagulanyi asabye bannabyabufuzi okumulabirako
Ab’ekibiina ki National Unity Platform, mu geri eyenjawulo nabo bakungubagidde abadde omubaka wa Kawempe North Muhammad Sseggirinya ku lumbe lwe baategese ku kitebe ky’ekibiina kino e Makerere-Kavule akawungeezi k’eggulo .
Akulira ekibiina kino, Robert Kyagulanyi SSentamu asinzidde ku lumbe luno nasaba bannakibiina okulabira ku Mugenzi okutambuza ebyobufuzi mu ngeri etali ya kusiga bukyayi.