Palamenti esiimye omubaka Muhammad Ssegirinya mu lutuula olwenjawulo
Palamenti olwaleero ekungubagidde abadde omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya, eyavudde mu bulamu bw'ensi eno olunaku lw'eggulo Ekiteeso ky'okusiima emirimu gya Ssegirinya kireeteddwa Abdu Katuntu omubaka wa Bugweri nekisembebwa akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi Ssegirinya asiimiddw olwokuyamba okutumbula embeera z'abant baabadde akiikirira naddala okuyita mu by'obulamu Ababaka bayisizza ekiteeso buli omu okuwaayo emitwalo ku musaala ggwe, okudduukirira ab’afamire ye nga kuno kwekuli n'abaana munana.