Ssaabalamuzi Owiny Dollo agamba abalamuzi bakyetaagisa okukola emirimu obulungi
Yadde nga gyebuvuddeko waaliwo okuwandiisa abalamuzi abapya, Ssaabalamuzi Owiny Dollo agamba n ti wakyaliwo eddibu ddene erikyetaaga okuziba bwekituuka ku bakozi ku mu kitongole ekiramuzi
Okusinziira ku Dollo embeera eno yeeviiriddeko n'emisango okwetuuma yadde nga mu kiseera kino bagenze bagikendeezaako
Leero ekitongole kino kifulumizza alipoota eraga engeri gye kyakolamu emirimu mu mwaka gw'ebyensimbi 2023/2024