Ab’e Busaabala, Kibiri ne Buggu basula ku tebuukye lwa NEMA
Abatuuze abagambibwa okwesenza mu ntobazzi ku byalo bisatu okuli Kibiri, Bbugu ne Busaabala mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo bazzeemu okusattira oluvannyuma lwa NEMA okubawa ekibaluwa ekibalagira okwamuka ekitundu kino.Okusinziira ku kibaluwa kino NEMA egamba nti ekitundu abatuuze mwe baakyesenzaamu mu bukyamu era ng'ebawadde ennaku 21 nga bakyamuse, kubanga kya lutobazzi olwa Kalidhubu. Abatuuze bano babadde baali baddukidde mu kkooti okusobola okuyimiriza NEMA okubamenyera amayumba era nga mu kiseera kino babadde balindiridde nsala ya Mulamuzi.