Ab’e Jinja bakungubagidde abadde amyuka RDC w’e Budaka
Abantu abenjawulo e Jinja bakungubagidde abadde abadde omumyuka wa RDC wa Disitulikiti y’e Budaka Hajjat Nusurah Nabukalu eyafiiridde mu kabenje akaagudde e Musita ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga olunaku lw’eggulo. Mmotoka ono mweyabadde etambulira yatomereganye bwenyi ne loole etambuza ebyenyanja era ye nafiirawo mbulaga Olwaleero Nabukalu aziikiddwa mu limbo y’abasiraamu emanyiddwa nga Kabuli stan esangibwa mu kibuga Jinja.