Ab’oludda oluvuganya balabudde palamenti ku bbago ly’omubaka Lumu
Abakulu okuva mu bibiina ebivuganya okuli FDC, ANT ne UPC, bawakanyiza ebbago ly'omubaka Richard Lumu, nga bagamba nti ebbago lino terikiikirira birowoozo byabwe wadde ebigendererwa byabwe era nga bagala akakiiko ka palamenti ak’eby’amateeka kaleme kumala budde bwako ku nsonga eno.Bano bagamba nti ebbago lino nga bweriri kati ligendereddwamu okunafuya enkola ey’ebibiina ssaako n’okwongera okutabulatabula ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya.Richard Lumu ayagala ababaka ku ludda oluvuganya mu palamenti be baba balonda akulira oludda oluvuganya mu palamenti okwawukanako nga bweguli kati nti ekibiina ekisinga ababaka ku ludda oluvuganya kye kiteekawo omuntu ono nga bwekisiimye.