ABAAKWATIBWA MU BY’EBIJAMBIYA: Kkooti eriko 10 beesindise ku alimanda mu kkomera
Olwaleero abavubuka 10 abaakwatibwa mu disitulikiti ye Mityana ne Kassanda nga bateberezebwa okwetaba mu kutigomya abantu nga bakozesa ebijambiya basimbiddwa mu kooti babitebye. Bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi owa kooti ento e Mityana Grace Wakooli n’abasomera emisango etaano omuli egy’obutemu ,obubbi , saako n’obuliisa maanyiKati basindikiddwa mu kkomera okutuuka ennaku z’omwezi nga 30 omwezi guno.