Ababaka bazimbidde eddwaliro lye Butabika ttanka y’amazzi
Ababaka mu palamenti nga bayita mu Sacco yaabwe eya Uganda Parliamentary Sacco baduukiridde eddwaliro lye Butabika nga balizimbira tanka y’amazzi okusobola okumalawo ekizibu ky’amazzi mu dwaliro lino. Akolanga akulira eddwaliro lino Emma Brian Mutamba abuulidde ababaka nti buli mwaka babadde basasaanya obukadde obusoba mu 200 okusasula amazzi, kyoka okuva lw’ebaatandika okuzimba tanka nga eno ebaweereddwa ababaka, kati bakozesa obukadde 100.