Abadde ayoleza banne engoye okweweerere attikiddwa e Makerere
Olwaleero etendekero lya Makerere lweritandise okutikkira abayizi omulundi ogwe 75 bukyanga litandikibwawo . Abatikiddwa bakubiriziddwa okwewalira ddala okunyooma emirimu, wabula bafube nnyo okwetandikirawo emirimu egyabwe nga beyambisa amagezi ge bafunye. Abayizi abasoba mu 13,000 bebagenda okutikkirwa mu matikkira gano agagenda okumala ennaku ttaano.