Ab'oluganda lw’omugenzi Ssegirinya banyiivu olw'abawagizi ba NUP okulemesa enteekateeka z'okuziika
Ab'oluganda lw’omugenzi Muhammad Ssegirinya balaze enyiike olw'abawagizi b'ekibiina ki NUP okulemesa enteekateeka ezabadde zikanyizidwako mu kuwerekera omuntu wabwe. Olunaku lw'eggulo wabaluseewo olutalo wakati wabannakibiina ki NUP n'omubaka wa Nyendo - Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba ku kifo ekituufu omulambo gw’omugenzi wegwabadde gulina okuteekebwa nga tegunnaziikibwa oluvanyuma lw’enjuyi zombi okutegeka ebifo eby’enjawulo.