Abagoberera eby’obufuzi baliko bye boogedde ku meenunula ga Uganda
Waliwo abatunuulizi b'ebyobufuzi abagala gavumenti eyongere amaanyi mu kutuusa obuweereza mu bantu nga y'engeri yokka oy'okumatiza bannansi nti baanunulwa mu lutalo lw'ekiyeekera olwawangulwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ne banne mu 1986. Bano bagamba ebigenda maaso ng'obuli bw'enguzi, bannansi okufa mu ngeri ezitategeerekeka kwossa obutali bwenkanya mu by'obufuzi bitattana ebigendererwa by'ameenunula.