Abasawo n’abenganda za Besigye baagala ayimbulwe afune obujjanjabi
Ab'enganda za Dr. Kizza Besigye kwossa abasawo ng abayita mu kibiina ekibagatta ki Uganda Medical Association balaze okutya nti singa Besigye takirizibwa kufuna bujjanjabi bwetagisa okuva wabweru w'ekkomera, embeeraye yandisajjuka era nga baagala ayimbulwe mu bwangu. Wadde ng'ekintongole ky'amakomera kizze kikakasa nga Besigye bw'ali mu mbeera ennungi, abasawo bagamba okusinziira ku ndabika ye, tebasobola kukkiriza ebyo ebyogerebwa ekitongole ky'amakomera okuggyako nga bamwekebejja.