Abasomesa mu Wakiso bawagidde okuggyawo ebigezo bya PLE
Abakulu b’amasomero mu disitulikiti ye Wakiso baagala minisitule ye by’enjigiriza eyanguwe okujjawo ebibuuzo eby’akamalirizo ku mutendera gwa pulayimale oba Primary Leaving Exams nga akakakiiko ka Education Policy Review Commission bwekateesa. Bano bagamba nti nabo nga abasomesa kyali kyabaluma dda okusomesa abayizi okumala emyaka egisoba mu musanvu , kyoka nebagezesebwa mu saawa ezitasukka saatu. Baagala omwana ensoma ye egobererwe okuviiraddala mu bibiina ebyawansi.