Abasuubuzi e Nakasero bagamba ebibala ebitali ku mutindo bibattidde akatale
Abasuubuzi b'ebibala mu katale ke Nakasero bawanjagidde gavumenti nga baagala esitukiremu ku bibala ebitatuukana na mutindo ebireetebwa ku katale bye bagamba nti bitattana omutindo. Balumiriza gavumenti okuwa abasuubizi ensigo z’ebibala , kyokka n’etabawabula ku ngeri ya kuzirabiriramu , okukakana nga byebalimye tebituukana na mutindo Baagala gavunenti etwale obuvunaanyizibwa, efeeyo ku bibaala ebituuka mu butale.