Akabenje e Busia kalumizza basatu, motoka eyonooneddwa abantu
E Busia akawungeezi k’eggulo, motoka y’ekitongole ky’eby’emisolo ekirwanyisa abakukusa eby’amaguzi yatomeraganye ne takisi eyabadde ekyukira mu kkubo, byagenze okuggwa nga abantu basatu, okuli abakyala babiri n’omwana ow’emyezi etaano bafunye ebisago eby’amaanyi era ne baddusibwa ku Busia Health Center IV. Abantu abeewadde ogw’obulamuzi bazze ku mmotoka y’ekitongole ki URA ne bagyonoona era bwe baategedde nti poliisi ebayigga, ne babulawo.