Akakiiko k’ebyokulonda kasinsinkanye abakwatibwako kunsonga y'okutereeza enkalala z’abalonzi
Kitegerekese ng'Abalonzi abapya abanaaba tebaweza mya 18 ennaku z'omwezi 10 omwezi gw'okubiri omwaka guno wezinatuukira, bwe batajja kuwandiiisibwa kulonda . Olwaleero ab'akakiiko k'ebyokulonda basisinkanya abakwatibwako ebyokulonda okwongera okubaako bye battaanya ku nteekateeka y'okutereeza enkalala z'abalonzi . Enteekateeka eno yaakutandika nga 20 omwezi guno ekommekkerezebwe nga 10 omwezi gw'okubiri omwaka guno .