Akakiiko k’eddembe kaagala Eric Mwesigwa akole sitaatimenti endala
Akakiiko k'eddembe ly'obuntu nakati kalinda Eric Mwesigwa okuddayo gyekali akyuse siteetiment okuva ku eyo gyeyasooka okukola.Ono gyebuvuddeko yagenda ku kakiiko kano nga ategeeza nga bweyatulugunyizibwa ab'ebyokwerinda era nga ayagala aliyirirwe .Mwesigwa wiiki eno yakyusa siteetimenti n'agamba nti ate yatulugunyizibwa ba kibiina kye ekya NUP .Omwogezi w'akakiiko k'eddembe Alex Bukumune ne munnmatteeka Marvin Saasi baliko byebatubuulidde.