Ataakulaba! Eggaali nayo yali ku mwanjo nnyo mu by’entambula y’edda
Abantu bwebafiirwanga ku mirembe egy’edda baavuganga ggaali okugenda okubikira ab’e Bule ne Bweya. Kyoka olumu baatukanga n’okuziika ng’eyagenze okubika tanadda olw’okuba abamu bafunanga obuzibu mu kkubo kyoka nga tebalina bwebajja kubuulira bebalese eka. Waliwo bebatumanga okutwala ebirango ku radio, kyoka bwebasanga nga radio z’awaka nga bagenda boogerera awo nga balowooza nti amaloboozi gayita mu radio eyo okutuuka ku balala. Ataakulaba!