Baabano Bakabaka ba Buganda
Olwaleero Obuganda bujaguzza nga bwejiweze emyaka 30 nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alamula Obuganda, amatikkira gano gongedde okufuula omulembe omutebi ogw’enjawulo kubanga Kabaka Mutebi naye ayingidde olubu lwa bakaba ba Buganda abamaze ebbanga eliwerako nga balamula Obuganda mũ luse luno olwa Kabaka Kintu era Mutebi afuuse omu Kabaka ba Buganda Kanonad baawangaazizza okusinga ku balala mu luse luno olwa Kabaka Kintu.