Bangi beetabye mu kusaala okubadde ku muzikiti gwa Mbogo okujjukira Ssegirinya
Olukiiko lwe Ggombolola ye Kawempe lusazeewo okubbula olumu ku nguudo mu kitundu kino mu linnya ly'abadde Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya okusobola okumujjukirirako olw'eebirungi by'akoledde bannakawempe Leero Wabaddeyo okusalira Omugenzi ku muzikiti gwa Kawempe Mbogo nga kunokwetabiddwako nnamungi w'omuntu.