Bannabyabufuzi boogedde ku kulondebwa kwa Abbas Byakagaba ku bwa Ssaabaduumizi wa poliisi
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni alonze Abbas Byakagaba ku bwa Ssaabaduumizi wa Poliisi okudda mu bigere bya Martins Okoth Ochola eyawummula gyebuvuddeko. Watuukidde okulondebwa mu kifo kino Byakagaba y'abadde akulira ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obutujju wabula nga Kontulatiki ye yaggwako mwezi guno. Okulondebwa kwe bannabyabufuzi buli omu akwogeddeko bubwe nga waliwo abagamba nti yandibadde takomezebwawo so nga abamu balina essuubi nti omulimu ajja kugukola.