Besigye ayagala ayimbulwe olw’embeera y’obulamu bwe
Kkooti esokerwako eya Buganda Road nate ezizaayo Dr.Kizza Besigye ku alimanda okutuusa nga 20 omwezi guno, elyoke ewe ensala yaayo ku kusaba kw'ataddeyo nga ayagala ayimbulwe. Leero bannamateeka ba Besigye babuulidde kooti nti muntu waabwe mulwadde , kale nga yetaaga kuyimbula agende afune obujanjabi obugwana. Mu kooti eno Besigye avunaanwa musango gweyazza mu 2022 ogwokukuma omuliro mu bantu bekalakaase.