BYRON RUGOMOKA :Yeesunga z’e Busiika
Omuvuzi wa motoka z'empaka Byron Rugomoka eyawangudde engule ya National rally Championship ey'omwaka guno kati atunuulidde okuwangula empaka za champions sprint e Busiika ku bbalaza.Rugomoka n'abavuzi abalala amakumi asatu bebakewandiisa mu mpaka zino eziggalawo kalenda y'omuzannyo gwa motoka z'empaka omwaka guno.