DP njimaze sigiddira: Luyimbazi Nalukoola asuddewo obukulu
Munamateeka Elias Luyimbazi Nalukoola agamba nti mu kaseera kano ali mu kwetegereza kibiina kya byabufuzi ky'ayinza okwegatako oluvanyuma lw'okulekulira ekifo kye mu kibiina ki Democrtic Party.Nalukoola yawandiise ebbaluwa okutegeeza bakamaabe nga bw'alekulidde omulimu gwe ogwokuwabula ekibiina ki DP mu by'amateeka nga yeekwasa nti bano baayingira enkolagana ne ne NRM gy'atebuzibwako. Nalukoola era ategezeezza nti alina n'ekiruubirirwa okwesimbawo ku kifo ky'omubaka akiikirira abantu ba Kawempe North mu kiseera ekino ekirimu Muhammad Ssegirinya.